ENKAAYANA KU TTAKA E WAKISO :Akakiiko ka statehouse akalwanyisa enguzi kaziyingiddemu
Minisita omubeezi ow'ebyettaka Sam Mayanja awadde akakiiko akanoonyereza ku nguzi aka State House Anti Corruption obuvunaanyizibwa okunoonyereza ku butuufu bwabannanyini bibanja ku ttaka lye Kakanyu mu disitulikiti ye Wakiso.Kino kiddiridde akakiiko akaatekebwawo Minisita omubeezi ow'ebyettaka Sam Mayanja nga kaliko poliisi ne RDC we Wakiso okulemererwa okuvayo n'alipoota entuufu ku mivuyo ku ttaka lino Leero Minisita azeeyo ku ttaka lino oluvannyuma lw'okukizuula nti abatuuze n'okutusa kati tebaddizibwa nga ku bibanja byabwe nga bweyalagira.