ENDAGAANO KU MMWANYI: Biibino ebimu ku byabadde mu nsisinkano y’ababaka ne Museveni
Ensonda zitubuulidde nti olunaku lweggulo president Museveni yasabye ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyobusuubuzi okwetegereza endagaano ye mwaanyi mu alipoota ygyebakoze mu kunoonyereza kwebabaddeko kungeri kkampuni Uganda Vinci coffee gyeyafuna endagaano egula n’okutunda emwaanyi za Uganda. Ababaka abamu betwogedde nabo bagamba nti alipoota y’akakiiko ka palamenti tekyasobola ku kyusibwa kasita yatuuka ewa sipiika, bano bagamba nti omukulembeze weggwanga ayitiriza okwenyingiza mu mirimu gya palamenti nga kino kijjawo okwetnegerera kwabwe.