EMYAKA ETAANO EGYA AGAFA EYO: E Kamuli babasiimye olw’okukyusa embeera y’abatuuze
Abakozi ba Spark TV aba Agafa Eyo olunaku lw’eggulo baasibye mu gombolola y’e Namasagali e Kamuli gye beetabidde mu mirimu egyenjawulo okuyambako abatuuze mu by'obulamu ssaako n'obutonde mu kujaguza emyaka etaano gye bamaze ku mpewo. Amyuka Ssaabaminisita asooka era nga ye Mubaka omukyala ow'ekitundu kino Rebecca Kadaaga yaasinzide eno n’akubiriza abakyala okwetanira eby’emikono okusobola okwongera ku by’enfuna mu maka gaabwe.