Empologoma ssatu zifudde, zaakubiddwa amasannyalaze g’oku kikomera
EBY’OBULAMBUZI nate bizzeemu edibu eddala empologoma bwe zittiddwa amasannyalaze agateekebwa ku kikomera kya Irungu Safari lodge mu disitulikiti Rubiriizi. Ab'ekitongole ekitaatira ebisolo ebiwangaalira mu nsiko ki Uganda Wildlife Authority bali mu kubuuliriza ku ngeri akabenje kano gye kaatuuseewo.