EMPAKA ZA COMMONWEALTH: Enteekateeka ya ttiimu y’ebikonde ya kutandika
Ekibiina ekitwala omuzannyo gw’ebikonde mu ggwanga ki Uganga Boxiing Federation kyakutandikirawo okuteekateeka abazannyi abanaakiikirira eggwanga mu mpaka za commonwealth games ezigenda okuyindira mu Birmingham ekya Bungereza omwaka ogujja. Ekibiina kino kitaddewo empaka wiiki ejja mwekigenda okusunsulira abazannyi abanagenda ku ttiimu y'eggwanga. Enteekateeka eno eddiridde okugema abazannyi b'ebikonde abasuuka mu lusanvu eri ekirwadde ki Covid-19