EMPAKA Z’OMUPIIRA GW’ABAKAZI: Uganda eteereddwa mu kibinja omuli Rwanda, Burundi ne Djibouti
Uganda eteereddwa mu kibiinja A eky'empaka z'omupiira gw'abakazi eziggyibwako akawuuwo nga 23 omwezi guno mu kisaawe kya FUFA e Njeru. Obululu bw'ebibinja bukwatiddwa olwaleero okuyita mu nkola y'omutimbagano eya Zoom,era ttiimu munaana ezakakasizza okwetaba mu mpaka zino ziteekebwa mu bibiina bibiri.