EMIZANNYO GYA YUNIVAASITE: Kabenge azzeemu okulondebwa ku bukulu
Munnabyamizannyo Peninah Kabenge yalondeddwa okuddamu okukulembera ekiibina ekitekateeka emizannyo gya matendekero mu ggwanga okumala ebbanga lya myaka ena emirala. Ono atubuulidde nti okuzimba amaka g’ekibiina kyakulembera wamu n’okwongera ku bungi bw’emizannyo egizannyibwa amatendekero wano mu ggwanga byagenda okuteekako essira mukisanja kino kyagamba nti kyasubira okukomako.