EMISINDE GYA BANKUBAKYEYO: Golola akunze bannayuganda okugyetabamu
Omukubi w’ensambagere Moses Golola y’omu ku bakakasizza okwetaba mu misinde gy’okuyambako okuzimba ekifo we bajja okubudaabudira Bannayuganda abanyigiriziddwa embeera y’okukuba ekyeyo naddala abo abava mu mawanga ga Buwarabu. Emisinde gino egya kkilomita ettaano gituumiddwa Migrant Stake Holders Run gyakubeerawo nga bbiri omwezi ogujja e Kololo.