EMIRIMU GYA GAVUMENTI : Enkola y’oluguudo e Kalangala tematizza minisita Akello
Minisita omubeeezi alondoola ebyenfuna byeggwanga Beatrice Akello asabye abakulembeze mu district ye Kalangala okufuba okulaba nga bakola emirimu gyabwe mu bwenkanya okusobola okutuusa empeereza ku bantu mu kitunudu kino Ono abadde alambula emirimu gavumenti gyesaamu ssente ku kizinga kino. Waliwo oluguudo mu kitundu kino olutamusanyusizza ng'alagidde wabeewo okunoonyereza okuzuula oba ng'ensimbi ezakalusaasaanyizibwako zikoze omuli gwazo.