EMIRIMU GYA GAVUMENTI: Ba minisita bennyamivu olwa bye baasanze e Bududa
Avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi ne yinginiya wa Distulikiti ye Bududa beebamu ku basazeewo okwekukuma Minisita avunaanyizibwa ku kulondoola ebyenfuna Peter Ogwang bweyabadde mu distulikiti eno olunaku lweggulo. Ono yabadde alambula entekateeka za gavumenti ku Pulojekiti ezenjawulo nga yakaweereza ssente ezisuka mu buwumbi omusanvu naye nga emirimu egikolebwa tegigya mu ssente zino