Embalirira ya Buganda eya 2022/23 esuubirwa okuba ya buwumbi 150
Obwakabaka bwa Buganda bwa kuyisa embalirira ya buwumbi 150 mu mwaka gwe by’ensimbi 2022-2023. Okusinziira ku nteebereza esomeddwa minisita omuwanika, oweek. Waggwa Nsibirwa, ebimu ku biteekeddwako essira kukyusa mbeera z’abantu ba Buganda naddala mu by’enfuna, eby’obulamu n'okwongera okutumbula eby’obulimi. Nsibirwa agamba nti ba kwongera okukubiriza abantu ba Buganda okulima emmwaanyi newankubadde waliwo nga waliwo ebiyinza okubalamu amaanyi mu kiseera kino.