EKIWAMBA BANTU: E Nakasongola waliwo abalaajana
N’okutuusa essaawa y’aleero abantu abawambibwako abaabwe nga batwalibwa mu motoza ezakazibwako erya drone bakyalajanira government okubayimbula. Mu district ye Nakasongola kigambibwa nti abantu bataano bebaakwatibwa ab’ebyokwerinda mu January w’omwaka guno ku nsonga ez’ekuusa ku by’obufuzi nga n’okutuusa essaawa eno ab’enganda zaabwe tebabakubangako kimunye.