EKIVVULU KYA NYEGE-NYEGE: Abadigize abagenda okukyetabamu batandise okutuuka
Wetwogerera bino ng’enkuyanja y’abantu etandise okweyiwa mu disitulikiti y’e Jinja ku kyalo Itanda okweyuna ebikujjuko by’ekibbiitu kya Nyege Nyege ebitandika mu butongole olunaku olw’enkya.
Ng’ogyeeko embeera y’oluguudo okubeera olubi olwo oluva e Jinja okutuuka ku kyalo Itanda ewali ttabbulu eno embeera mu kifo kino ya ssanyu era abantu bangi beesunze ebikujjuko bino.