EKISENGE KIGUDDE : Mmotoka ne nnyumba byonooneddwa
Poliisi etandise okuyigga nnanyini kikomera ekigudde enkya ya leero nekibaako ebintu byekyonoona. Kigambibwa nti amazzi gamukoka gegaviiriddeko ekisenge kino okutendewalirwa nekigwa nga kiriko emmotoka gyekyonoonye.Bino bibabadde mu kitundu kye Luteete ku luguudo lwe Gayaza.