Ekibumbe kya Ssekabaka Muteesa: Buganda egamba bakkaanyizza ne KCCA okukisengula
Obwakabaka bwa Buganda bwagala KCCA ereme kuva ku ndagaano eyatuukibwako ku by’okusimbuliza ekibumbe kya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ekyali kyateekebwa ku nkulungo y’oluguudo lwa Speke road mu Kampala. Okusinziira ku Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ekibumbe kino kyaweebwayo ab’enju ya Sir Gordon Wavamuno ababaatuukiridde nga baagala kireme kukyusibwa mu ndabika yaakyo KCCA bwenaaba ekizza mu kifo kirala. Kitegeerekese nti KCCA ekibumbe kino egenda kukizza mu kibangirizi ekiri ku luguudo lwa Nile avenue ne Maknon Road okuliraana woteeri ya Serena kisoboze omulimu gw’okugaziya enkulungo ya Speake Road.