Ekibiina ki PFF kitandise okuggulawo wofiisi mu bitundu eby’enjawulo
Ekibiina ki People’s Front For Freedom leero kibakanye ne kaweefube wokuggulawo ebitebe byakyo mu bitundu bye ggwanga ebitali bimu,ng'omu ku kaweefube w'okunyweza emirandira gyakyo mu ggwanga lyonna.Bano kaweefube ono bamutandikidde mu muluka ggwe Kirinnya mu gombolola ye Bweyogerera, kko ne Buyikwe. Bano basinzidde eno nebasaba ebibina ebiri ku ludda oluvuganya okwejjamu okunenengana kuba kino kisemberedde okunafuya kaweefube waabwe owokwezza obuyinza mu kulonda kwa 2026 okusemberedde.