EBY’OMUYIZI EYAFIIRIDDE KU SSOMERO: Abazadde bawakanya ebigambibwa nti yesse
Abooluganda lw'omwana Hawah Nantongo owa siniya ey'okutaano ku Wampeewo-Ntakke Senior School agambibwa okuba nti yeetuze baagala bwenkanya oluvannyuma lw'okutegeeza nti omwana waabwe yatemuddwa-butemulwa. Kigambibwa nti Nantongo yeggya mu bulamu, oluvannyuma lw'abasomesabe okumukaka okukola amasomo oba combination gye yali tayagala. Poliisi etubuulidde wetuuse ku nsonga z'okufa kwa Nantongo.