EBY’OKUZZAAYO OBUKADDE 40: Omubaka Twaha Kagabo yeetondedde palamenti
Omubaka wa Bukoto South Dr. Twaha Kagabo yetondedde palamenti ne sipiika Anita Among, olwakyayise okulebula palamenti ne sipiika ku nsimbi obukadde 40. Gyebuvuddeko Kagabo yakomyawo obukadde 40 eri palamenti ngalumiriza nti sipiika Anita Among yeyabumuwa mungeri eyamakwetu. Kagabo ategezeza palamenti nti kyeyakola tekyali kituufu. Ko akakiiko akakwasisa empisa katandika nkya okunonyereza ku nsonga za Kagabo.