EBY’OKUBUZAAWO ABANTU BIZZEEMU: E Luweero musanvu bawambiddwa mu matulutulu
Waliwo abantu mu distulikiti ye Luweero abakukkuluma nga bwe waliwo abantu babwe musanvu abakwatiddwa abateeberezebwa okubeera ab’ebyokwerinda kyokka nga n’okutuusa kati tebamanyi mayitire gaabwe. Kigambibwa nti bamukwata mmundu ababadde mu ngoye ez’abulijjo nga bali mu motoka ya drone baawamba abantu bano nga buli omu baamuggya gyasula ku ssaawa 11 ez’okumakya ku lunaku lw’okutaana ssabiiti ewedde. Ab’enganda zaabwe bagamba nti banoonnyezza ku Poliisi ez’enjawulo ng’abantu baabwe tebaliiyo era nga kati basobeddwa.