EBY’OBUFUZI MU MATENDEKERO: Manya lwaki bifuuse bya kufa na kuwona
Akanyoola bikya akabaawo buli kulonda kw'abayizi lwekubaawo mu matendekero agawaggulu, katandise okuleetawo okutya. Wakati mu kulumizibwa wamu n'okufa nga bwekyalabikidde ku muyizi wa UCU Bewatt Betungura kwaleseewo ebibuuzo bingi, ku kirina okukolebwa okutereeza ebyobufuzi. Tuliko abantu ab’enjawulo betwogeddeko nabo omuli abagoberera ensonga saako abakulembeze babayizi nebakuba ttooki mu nsonga zino.