EBIRUNGO BY’EMMERE Y’EBINYONYI: Abalunzi basattira lwa kubissaako musolo
Abalunzi n’abatabula emmere y’enkoko n’ebisolo balabudde ekitongole ekiwooza ekya URA ku kyokubinika omusolo ku birungo ebikozesebwa mu kutabula emmere ebiva bweru w’eggwanga ekivuddeko konteyina zaabwe eziwerako okukwatibwa ku nsalo e Malaba Wansi w’ekibiina kyabwe ki Poultry Association of Uganda bagamba boolekedde okusuuulawo omulimu guno ntyi era wabula kyakwongeza n’ebbeeyi y’ebintu nga amagi, amata n’ebirala kubaga mpaawo ayagala kukolera mu kufiirizibwa. Wabula omwogezi wa URA Ibrahim Bbosa agamba bano bapapye okutandika okwemulugunya kubanga essawa yonna bakuyitibwa babyogeremu.