EBIRUMA BANNAYUGANDA: Alipoota eraze nti bangi bali mu kutya
Alipooti ekoleddwa ebitongole by'obwannakyewa eraga nga bannayuganda bwebongedde okutya okukunngaana n'okwogera ku bibaluma mu lujjudde olw'okutya okuwambibwa n'okutulugunyizibwa. Nga batongoza ebivudde mu kunoonyereza kuno mu Kampala okutuumiddwa Study on the state of civic space in Uganda, bannakyewa balabudde akabi akoolekedde enfuga ya demokulasiya singa embeera egenda mu maaso bweti.