EBIRAGIRO KU NTAMBULA: Embeera bweti bwebadde e Luweero
Poliisi ekedde ku nguudo okukwasiza ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ku kutangira okusasaana kw’obulwadde bwa covid-19 okutangira abantu okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala . Ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, Poliisi yateegedde ku kyalo kakerenge ewali ensalo ya Luwero ne Wakiso nga teganya bantu kusala. Herbert Kamoga naye yakedde wano era katubuulire embeera nga bwebadde.