DP ESIGADDE ETYA: Abatunuulira eby’obufuzi bakubye ttooki mu mbeera
Abalondoola ensonga bakubye ttooki mu mbeera yekibiina ki Democratic Party ekyakakola endagaano okukolagana n'ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM. Bano bagamba nti ekibiina kino kyakusigalawo wabula nga kinafu ebitagambika ebisuse. Kyoka abamu ku bakulembeze mu kibiina ki DP bagamba nti ekibiina kyabwe kyakusigala nga ky’amaanyi kubanga tekitambulira ku muntu sekinoomu.