COVID-19 MU KAMPALA: Abakolera mu kikuubo balabuddwa
Abasuubuzi abakolera mu kikuubo mu Kampala balabuddwa nga ekifo kyabwe bwekyolekedde okuggalwa okujjako nga batadde ebiragiro ebirwanyisa Covid-19 mu nkola nga abebyobulamu bwebaalagira . Okusinziira ku ssentebe wa kakiiko okavunanyizibwa ku kulwanyisa covid 19 mu Kampala era nga ye RDC Hussein Hood, nsalesale wa naku bbiri awereddwa banna Kampala naddala ekikuubo okweddako.