COVID-19 ekika kya Omicron alabiddwa mu Uganda, embeera si mbi
Aba minisitule y'eby’obulamu bakakasa nti ekika kya Covid-19 ekiyitibwa Omicron kyaggusse dda mu Uganda. Abakugu mu bulwadde obuva ku buwuka obusirikitu ababadde balondoola abantu ku nsalo za Uganda n’ebifo ebirala ebiyingirirwamu eggwanga be bazudde abantu balina Covid ow’ekika kino ekyogerwako nti kisaasaana ku misinde miyitirivu ekyavaako n’amawanga nga South Africa mu nanku ntono eziyise okuddamu okufuna omujjuzo mu malwaliro