COVID-19: Ababundabunda abava e Congo beeyongedde e Ntoroko
Wabaluseewo obweraliikirivu mu bakulembeze ba Disitulikti ye Ntoroko olwababundabunda abava mu ggwanga lya Congo okweyongera okweyiwa mu kitundu kyabwe. Bano okutya kwebalina nti abantu baabwe bali mu matigga g'okukwatibwa ekirwadde ki COVID-19, kuba bangi ku babundabunda eggwanga baliyingira mu mankwetu nga kizibu okubanti baakeberwa okukakasi nti tebalina kirwadde. Kigambibwa nti bannansi ba Congo bano bali mu kudduka kibambulira kyabayekera ba ADF ababuzizzaako obwekyusizo.