COMMON MAN’S PARTY: Akakiiko k’ebyokulonda kagyegaanye
Akakiiko k’ebyokulonda kategeezezza nga bwekatamanyi kibiina kyonna kiyitibwa Common Man’s Party ekyatongozeddwa eyaliko omubaka wa Kawempe, Mubaraka Munyagwa olunaku lw’eggulo. Akakiiko kalabudde n'abantu abalina essuubi nti baakuvuganyiza wansi w'ekibiina kino eky'akabonero k'olusaniya nti bandikifuuwa nga bakizza munda.Kyokka Munyagwa obuzibu abutadde ku kakiiko k’agamba nti keekunyizza mu kuwandiisi ekibiina.