CAF CHAMPIONS LEAGUE: Vipers enkya eddingana ne Raja Cassablanca
Omutendesi wa Ttiimu ya SC Vipers Alex Isabirye awera nga tiimu ye bwegenda okwesasuza Raja Casablanca eya Morocco mu luzannya olw'okuddingana mu mpaka za bannantameggwa ku lukalu lwa Africa eza Caf Champions League. Ttiimu z'ombi zaakuttunka olunaku lwenkya ku kisaawe kya st Mary's e Kitende nga vipers enoonya buwanguzi obusoose mu mpaka zino.