Busia Young Girls, St Jude ziwangudde empaka z’omupiira eza Uganda Girls League
Ttimu ya Busia Young Girls ne St Jude ziwangudde empaka z’omupiira gwa bawala eza Uganda Girls League ku mutendera gwa bawali wansi w’emyaka 18 ne maya 15 ezikomekerezedda olwaleero ku kisawe kya Madibira mu Busia. Abategesi batubulidde nti empaka zino zigendererwamu okukumakuma abanna ab’obuwala mu bisera by’oluwumula baleme okukemebwa okukola ebiyinza okubalemesa okweyongerayo nemisomo gyabwe. Tiimu ezetabye mu mpaka zino mulimu ezabali wansi w’emyka ekumi nessatu, kumi n’etanno wamu ne kumi n’omunana.