BRUNO FRANCIS BAZIBU: Kkooti y’amagye emukkiriza okweyimirirwa
Kyaddaaki Lt. Gen Andrew Gutti, ssentebe wa kkooti y’amagye, akkirizza munna-NRM, Bruno Francis Bazibu, okweyimirirwa oluvannyuam lw’omwaka mulamba ku alimanda. Bazibu kigambibwa nti yasangibwa n’esassi. Olwaleero gubadde mulundi gwa kusatu ng’asaba okweyimirirwa. Bazibu yeeyimiriddwa ku bukadde bwa sillingi 10 naye nga si za buliwo olwo ate n’alagirwa okuwaayo pasipoota ye eri kkooti nga era wa kweyanjulanga eri kkooti eno emirundi ebiri buli mwezi.