Besigye agamba bannayuganda balina kwogeza ddoboozi limu ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye
Munna FDC era akulira ekisinde ki People's Front for Transition Dr. Kkiza Besigye akalambidde nti ekya banna Uganda okuzukuka nebalwanisa embeera y'ebintu ey'ekanamye mu dembe ky'ekyoka ekigenda okutaasa embeera. Besigye eyakava mu komera abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya JEEMA e Mengo, gyakikkaatirizza nga mu kiseera kino bwebetaaga okweggatta mu ddoboozi eryawamu ng'oludda oluvuganya okusobola okutaasa bannayuganda .