Bbeeyi y’obuwunga erinnye, amasomero galowooza ku kya kwongeza bisale
Wakati mu mbeera ng'ebbeeyi y'ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo erinnya, bbeeyi y'obuwunga bwa kasooli ebaddenga wansi. Wabula wetwogerera nga nabwo kati bulinnye. Kino nno kivudde ku bbeeyi yakasooli okulinnya ng'abasuubuzi bakyesigamizza ku beeyi y'amafuta erinnya buli kiseera. Abamu ku baddukanya amasomero batandise okulowooza okulinnyisa ebisale by'essomero singa embeera eno tekyukako.