Bbaasi ebadde esaabaza abayizi egudde ku kabenje erumizza 35
Waliwo abayizi abasoba mu 30 ab’essomero lya Fort Portal Secondary School abaagudde ku kabenje akawungeezi k'eggulo era nebaddusibwa mu malwaliro okuli Fort Portal regional referral ne Kabarole . Kigambibwa nti bano baabadde bava ku mupiira mu mpaka z'amasomero ezakamalirizo nga baaziwangudde. Akabenje kigambibwa kaavudde ku dereeva wa baasi okulemererwa okuweta ekoona. Akabenje kaagudde Kitarasa mu town council ye Karago , ekisangibwa mu Fort Portal City North division.