BASULIRIRA KUGOBWA KU TTAKA: E Zirobwe abasoba mu 5,000 basula ku tebuukye
Abatuuze abasoba mu 5,000 ku kyalo Bubuubi ekisangibwa mu gombolola ye Zirobwe e Luwero basula ku tebuukye olw’abantu ababagobaganya ku ttaka eriwezaako obugazi bwa square mailo. Bagamba nti kati batandise n’okubononera emmere nga kwotadde okutema amakubo ku bibanja byabwe mu ngeri y’okubasindiikiriza okuva ku taka lino.