ATAAKULABA: Kizito anyumya lwe yakwata Idi Amin mu ngalo
Idi Amin Ddala Oumee ayogerwako nnyo ng’omukulembeze wa Uganda eyali tasaagirwako era abantu gwebaali batya ennyo. Ono yakulembera Uganda okumala emyaka 8 okuva mu 1971 paka 1979. Mu mboozi yaffe Ataakulaba olw’aleero ogenda kuwulira Lawrence Kizito Bagaya eyafuna omukisa ogumukwatako mu ngalo bweyali aweza egy’obukulu 17. Ku mukolo guno waliwo okubwatuka abantu nebabuna emiwabo nga balowooza bbomu.