Asazeeko omwana omutwe:Poliisi ekutte omusumba w’e Mubende
Waliwo omusumba w'ekkanisa Yabalokole akwatiddwa poliisi e Mubende oluvannyuma lw'okusalako omwana we ow'emyaka ena omutwe. Akwatiddwa ye Alex Mugisha ng'abadde asumba Prophesy Pentecoastal Church esangibwa e Kanseera mu East Division mu munisipaali ye Mubende. Mugisha agamba tamanyi kyamutuseeko kutuuka kwettira mutabani we gwe yakeera enkya n'azaala.