AMATIKKIRA GA SSAABASAJJA: Ensonga y’ettaka lya mayiro tebuusiddwa maaso
Amatikkira aga 28 agakuziddwa mu Lubiri e Nkoni mu Buddu, gongedde okwoleeka obumalirivu bw’obwakabaka bwa Buganda okulwanirira ettaka lyabwo. Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri, okwogera kwe alaze obutali bumativu n’engeri gavumenti ya wakati gy’eyagala okukozesaamu olukujjukujju okukyusa ensonga z’ettaka lya Buganda. Kabaka ategezeezza nti Obwakabaka sibwakuuwera okuteesa na buli kiisi ayagala ebintu bikwatiibwe ngeri ya kisajja-kikulu wabula tebugenda kutunula-butunuzi nga bannakigwanyizi baagala okububbako ebyabwo.