Amatikkira g’omukama wa Bunyoro: Museveni amuyozaayozezza okuweza emyaka 30 ng'alamula Bunyoro
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abakulembeze b’ennono okwongera amaaanyi mu kukuuma ennono n’obuwangwa mu kiseera kino ebiri ku mugo gw’okusaanyizibwawo olwabannansi okwongera okukopperera ebyamawanga g’abazungu. Bino bibadde mu bubaka bwatisse Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku mukolo gw’okukuza emyaka asatu egy’amatikkira g’omukama wa Bunyoro Solomon Gafabusa Iguru asookaEmikolo gino giyindidde ku Kibangirizi kya Rukuraato mu Kibuga Hoima era nga gyetabiddwako abakungu okuva mu bukulembeze bw’ennono obwenjawulo omuli n’e Buganda ng’ekiikiriddwa Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule.