Amasomero gali mu mbeera mbi e Masaka
Nga tukyayogera ku by’amasomero agagenda okuggulawo mu mwezi gwe tugendamu ogwa January, e Masaka, abaddukanya amasomero ga gav’t n’ag’obwanannyini bali mu kusoberwa kwennyini olw’embeera ebizimbe by’amasomero gye birimu. Ku masomero mangi getulambudde, ebizimbe bikaddiye n’ebisukka. Ebimu bijjudde enjatika, ebirala byameramu dda n’ebiswa. Waliwo kaweefube abakulembeze mu kitundu ekyo gwe batandise okwekolamu ku nsonga eno.