AMASIRO G’E KASUBI: Okusereka Muzibu-Azaalampanga kutandise
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nga Obuganda ne gye buli eno bwe butasobola kuvaayo kutegeeza mu butongole ekyavaako amasiro okuggya kuba tebufunanga alipoota y’okunoonyereza ku kuggya kw’ago mu butongole newankubadde abaakuliramu okunoonyereza baakola alipoota ne bagikwasa gavumenti. Katikkiro okwogera bino, abadde awerekeddeko Omulangira Daudi Chwa e Kasubi okukola omukolo gw’okutandika okusereka ennyumba ya Muzibu azaalampanga.