AKALULU KE OMORO: Aba NUP si basanyufu n’okulwawo kw’enkalala
Ekibina ki National Unity platform kisabye akakiiko k'ebyokulonda okubawa olukalala lw'a balonzi mu kalulu k'okujuza ekifo ky'omubaka wa Omoro County .Bano bagamba nti esigadde ebbanga ttono naye nga ebkalala zino tebaziraba .NUP era egamba nti okuyita omuntu wabwe olwaleero ku kakiiko k'ebyokulonda nakyo kibamalidde ebiseera.Akakiiko k'ebyokulonda kaanukudde .Kigambibwa nti omu ku bali mu lwokaano yali yemulugunyiza akakiiko ke'ebyokulonda nga ababiri ku basemba mu na NUP nga bwebatamanyiddwa.