Akabenje e Mityana; babiri bafudde, abalala bagendedde ku bisago
Abantu babiri bafiiriddewo ate abantu abalala basatu ne baddusibwa mu ddwaliro, bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’emmotoka bbiri okutomeragana ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende. Akabenje kano kavudde ku loole eyekika ekya Tata ebadde etisse emiti ereemeredde omugoba waayo n'etandika okuwaba.