AKABENJE E KASANGATI: Mmotoka zitomereganye, babiri bafudde
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw'e Gayaza mmotoka bbiri bwezitomereganya bwenyi. Okusinziira ku beerabiddeko n'agaabwe akabenje kavudde ku mmotoka kika kya Premio ebadde eva e Kasangati eyisizza endala olwo nesangayo ginnaayo mmotoka endala ebadde yeetisse emigaati nezaambalagana.