ABATEMBEEYI KU NGUUDO: Ekiragiro kya Minisita Kyofatogabye bakiziimudde
Wiiki eweze emu okuva amayuka minisita wa Kampala Kabuye Kyofatogabye alagira batundira ku nguudo okuzivaaako. Abantu bano ekiseera ekybaweebwa kiweddeko naye bwe tutuuseeko ku nguudo z’omu Kampala ne mu Kikuubo, abatundira ku makubo beeyongedde bweyongezi. Abakulu mu KCCA batubuulidde nti baliko amagezi ge basala ku nsonga eno