ABASIBIDDWA AWATALI BUJULIZI: Omulangira Nakibinge asabye Ssaabaminisita bateebwe
Omulangira Kassimu Nakibinge asabye Ssaaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja okukozesa woffisi aperereze Gavumenti mwakolera okuta abantu abali kati mu makkomera nga tewali nabujjulizi bubaluma ku misango gyebagambibwa okukola . Ono era ayagala n'abo abenyigira mu kutulugunya baIBnna uganda banoonyerezebweko era bavunaanibwe mu mbuga za mateeka .