Abakugu bagamba Cerebral Palsy asinga kwegiriisiza mu byalo
Okulabirira abaana abaliko obulemu ku bwongo oba kiyite Cerebral Palsy si mulimu mwangu era ng’okusinziira ku bannakyewa, ab’awaka awasangibwa omwana alina embeera eno beetaaga okugabana obuvunaanyizibwa buno. Ku kyalo Namwendwa ekisangibwa mu disitulikiti ye Kamuli eriyo abazadde abalina omwana w’obulemu ku bwongo abatubuulidde okusomoozebwa kwe bayitamu. Bano okuzuula nti omwana waabwe alina obuzibu, yamala kuweza myaka ebiri nga tayogera, tatambula yadde okwavula.