ABAJULIZI ABASIRAAMU: Wategekeddwawo okusaba okwenjawulo e Namugongo
Ng'enteekateeka z'okukuza olunaku lw'abajulizi zeeyongera ebbugumu, wategekeddwawo okusaba okwenjawulo okujjukira abajulizi abasiraamu abafiirira eddiini yaabwe. Abaddukanya ekiggwa kyabajulizi bano e Namugongo bagamba nti kiba kyabulyazamaanya obutajjukira bajulizi bano wabula nga bakkaatiriza nti sikulamaga. Ssentebe W’akakiiko akalabirira ekiggwa ky'abajulizi abasiraamu pulofeesa Badru Kategregga atubuulidde ne ku nteekateeka z'okukulaakulanya ekifo kino