Ababaka okwekandaga ne bafuluma palamenti, abatunuulira eby'obufuzi buli omu akyogerako bubwe
Olunaku lw'eggulo akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi yakulembedde banne bwebali ku ludda oluvuganya nebafulama ekisenga kya palamenti ewateesezebwa nga bagamba nti kyabadde kikontana n'amateeka palamenti okukola ennongosereza mu tteeka lya UPDF eririmu n'okuzzaawo kkooti y'amagye.Wabula kino tekyalobedde palamenti kugenda maaso nakuyisa etteeka lino era kati lirindiriddemukono gwa mukulembeze wagganga litandike okukola.Kino kireseewo ebibuuzo bingi lwaki ab'oludda oluvuganya bafulumanga entuula za palamenti buli lwewabaawo amateeka agayisibwa naye nga galiko okusika omuguwa.Leero twogeddeko n'abamu ku bakenenula ensonga z'ebyobufuzi nebabaako byebatubuulira.