“Tetujja kwegatta ku mukago gwa IPOD”, Kyagulanyi avumiridde eky’okuyisa etteeka eribakaka okuteesa
Akulira ekibiina ki National unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu akalambidde nti bbo nga ekibiina si bakwegatta ku mukago gwa Ipod newankubadde gavumenti yayisizza ennongosereza mu teeka erirungamya ebibiina byobufuzi li Political Parties and organizations bill 2025 olunaku olwajjo.Okusinziira ku bbago lino ekibiina kyonna ekinagaana okwegatta ku mugao gwa IPOD ebibiina byonna mwebyegattira okuteesa, tekijja kuganyurwa mu nsimbi eziva mu gavumenti buli mwaka.Kyokka kyagulany leero agambye bannamawulire nti tewali nsonga yonna egenda kubakaka kuteesa na gavumenti bbo gyebagamba nti ejjudde basibira mu bbwa.